logo-black

Kyusa Endabika

Enfaanana


Entuuza


Akaawula ebitundu

Londako okebere enfaanana
×

Tuli Bayanja


Tweddira mutima omuyanja, era tusibuka mu Jjajja Namugera Kakeeto e Bbaale mu Buddu nga buno bwebutaka bwaffe. Twenyumiriza mu kika kyaffe kubanga kya nkizo. Tuli basajja n'abakazi abakozi, abamalirivu, abajagujagu, ab'esimbu, ate abalina okwagala.

Omuziro ggwaffe mutima ogw'ebisolo, ssi ogw'ettaka, ate akabbiro ssi mawuggwe wabula mawoowoolo.
Tuli bavubi ba Kabaka nga era omubala ggwaffe bweguvuga. Ate era ffe tuggala omulango Kaalaala ogusangibwa ku Lubiri e Mengo.

Ebyafaayo biraga nti ab'Omutima twaliko banyini Namulondo Ssekabaka Bbemba alyoke atuwangangusize e Bbaale mu Buddu nga alwanira obwakabaka, era e Bbaale Jjajjaffe Namugera Kakeeto gye yaddukira bwafuuka obutaka bwaffe.

N'olwekyo, abayanja tusisinkana ku bukaka bwaffe e Bbaale buli mwezi gwa munaana (August) okwongera okumanyagana, ko n'okusala empenda okutabulira awamu mu mbeera z'okwekulakulanya mu by'enfuna, empisa, n'obuwangwa.

project manager

Nicholas Kasekende

Namugera Kakeeto 47

Jjajja Omw. Nicholas Kasekende ye Namugera Kakeeto owa 47 eya sikirika kitaawe omugenzi Samuel Mayiga e Misenyi mu Buddu, ate era muzzukulu w'omugenzi Makubire Erifazi agalamidde e Misenyi, muzzukulu w'omugenzi Nikodimo Gatunulajjo naye agalamidde e Misenyi. Mwami mufumbo, era amakaage gali Buziga ku lw'e Ggaba.
Jjajja musomesa ku ssetendekero e Makerere, mulunzi ate era mu limi. Akubiriza bazzukulube bona jebali okubeera abakozi ennyo.

"Omusajja oba omukazzi omuganda mu lujjaalwe alina okubeera yo waakiri n'enkoko etakula mu lujjaalwe oba embuzi."

Olukiiko Olukulembezze

Manya abakulembezeebo